1 Peter 4

Obulamu Obuggya

1Kale nga Kristo bwe yabonyaabonyezebwa mu mubiri, nammwe mumalirire okubonaabona nga ye. Kubanga abonaabona mu mubiri aba takyafugibwa kibi. 2 aOkuva kaakano nga muli mu nsi muno, mugoberere ebyo Katonda by’ayagala, so si kugoberera kwegomba kwammwe okw’omubiri. 3 bMu biseera ebyayita mwemaliranga mu kukola ebyo Abaamawanga bye beegombanga. Mwali mwemalidde mu bwenzi, mu kwegomba okubi, mu butamiivu, mu binyumu, mu bubaga obw’omwenge, ne mu kusinza bakatonda abalala. 4 cKaakano abo abatakkiriza Katonda beewuunya era babavuma bwe balaba nga temukyabeegattako mu ebyo bye bakola. 5 dAbantu abo baliwoza mu maaso ga Katonda. Kubanga yeeteeseteese okulamula abalamu n’abafu ng’asinziira ku ebyo bye baakola. 6 eEnjiri kyeyava ebuulirwa, n’abafu balyoke basalirwe omusango ng’abantu abalala bonna, kyokka babe balamu mu mwoyo nga Katonda bw’ali.

Okukozesa Obulungi Ebirabo Katonda by’atuwa

7 fEnkomerero ya byonna eneetera okutuuka. Noolwekyo mwetegeke era mwegenderezenga, era bulijjo musabenga Katonda. 8 gN’ekisingira ddala obukulu mwagalanenga ddala mu mazima, kubanga okwagalana kubikka ebibi bingi. 9 hMusembezeganenga awatali kwemulugunya. 10 iBuli omu asaanidde okukozesa n’obwesigwa buli kirabo Katonda kye yamuwa olw’okugasa banne nabo balyoke bafune emikisa gya Katonda emingi gy’agaba. 11 jAyogera, ayogerenga ng’atumiddwa Katonda; ayamba, akikolenga n’amaanyi gonna Katonda g’amuwadde; mu byonna Katonda alyoke agulumizibwenga mu Yesu Kristo, alina ekitiibwa n’obuyinza emirembe n’emirembe. Amiina.

Okubonyaabonyezebwa olw’Okuba Omukristaayo

12 kAbaagalwa, temwewuunya obulumi obw’amaanyi bwe bubatuukako ng’abatuukiddwako ekintu ekitali kya bulijjo. 13 lKyokka musanyuke kubanga mugabanye ku kubonaabona kwa Kristo, mulyoke mujjule essanyu, ng’ekitiibwa kye kirabise. 14 mMulina omukisa bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo kubanga Omwoyo ow’ekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe. 15Mu mmwe temusaana kubaamu mutemu, oba mubbi, oba omukozi w’ebibi, wadde eyeeyingiza mu by’abalala. Kubanga buli abonyaabonyezebwa olw’ebyo taliiko ky’agasibwa. 16 nNaye bw’abonyaabonyezebwa olw’okuba Omukristaayo aleme kukwatibwa nsonyi, wabula yeebazenga Katonda olw’okuba owa Kristo. 17 oKubanga ekiseera kituuse Katonda okulamula ng’atandikira mu nnyumba ya Katonda. Obanga okulamula kutandikidde ku ffe, kale kiriba kitya ku abo abajeemera Enjiri ya Katonda?

18 p“Era obanga kizibu omutuukirivu okulokolebwa,
kale aboonoonyi n’abatatya Katonda balikolebwa batya?”
19Noolwekyo abo ababonaabona olw’okutuukiriza ekyo Katonda ky’ayagala, basaanidde okuwaayo obulamu bwabwe eri Katonda waabwe omwesigwa, bakole obulungi.

Copyright information for LugEEEE